Proverbs 7

Emitawaana Egiva mu Kukwana Omukazi Omwenzi

1 aMutabani nyweeza ebigambo byange,
era okuumenga ebiragiro byange.
2 bKwata ebiragiro byange obeere mulamu,
n’amateeka gange ogakuume ng’emmunye y’eriiso lyo;
3 ctogalekanga kuva mu ngalo zo,
gawandiike ku mutima gwo.
4Amagezi gatwalire ddala nga mwannyoko,
n’okutegeera, ng’owooluganda ow’omu kika kyo.
5 dBinaakuwonyanga omukazi omwenzi,
omukazi omutambuze awaanawaana n’ebigambo ebisendasenda.

6Lumu nnali nnyimiridde
ku ddirisa ly’ennyumba yange.
7 eNe ndaba mu bavubuka abatoototo,
omulenzi atalina magezi,
8ng’ayita mu luguudo okumpi n’akafo k’omukazi omwenzi,
n’akwata ekkubo eridda ku nnyumba y’omukazi oyo,
9 folw’eggulo ng’obudde buzibye,
ekizikiza nga kikutte.

10Awo omukazi n’ajja okumusisinkana
ng’ayambadde nga malaaya, ng’ajjudde ebirowoozo eby’obukaba mu mutima gwe.
11 gOmukazi omukalukalu,
atambulatambula ennyo atabeerako waka,
12 hwuuyo mu luguudo, wuuyo mu bifo ebikuŋŋaanirwamu,
mu buli kafo konna ng’ateega!
13 iN’amuvumbagira, n’amunywegera
era ng’amutunuulidde nkaliriza n’amaaso agatatya n’amugamba nti:

14 j“Nnina ssaddaaka ez’ebiweebwayo olw’emirembe,
leero ntukiriza obweyamo bwange.
15Noolwekyo nzize okukusisinkana,
mbadde njagala nnyo okukulaba, era kaakano nkusanze.
16Obuliri bwange mbwaze bulungi
n’engoye eza linena ava mu Misiri.
17 kMbukubye n’akaloosa,
n’omugavu, n’obubaane, ne kinamoni, ne kalifuuwa.
18 lJjangu tuwoomerwe omukwano okutuusa obudde okukya;
leka twesanyuse ffembi mu mukwano.
19Kubanga baze taliiyo eka;
yatambula olugendo luwanvu:
20Yagenda n’ensawo y’ensimbi;
era alikomawo nga wayiseewo wiiki bbiri.”

21 mYamusendasenda n’ebigambo ebisikiriza;
n’amuwabya n’ebigambo ebiwoomerera.
22 nAmangwago omuvubuka n’amugoberera
ng’ente etwalibwa okuttibwa
obanga empeewo egwa mu mutego,
23 ookutuusa akasaale lwe kafumita ekibumba kyayo,
ng’akanyonyi bwe kanguwa okugwa mu mutego,
so tamanyi ng’alifiirwa obulamu bwe.

24 pKaakano nno batabani bange mumpulirize,
era musseeyo nnyo omwoyo eri ebigambo byange.
25 qTemukkiriza mitima gyammwe kugoberera bigambo bye;
temukkiriza bigere byammwe kukyamira mu makubo ge.
26Kubanga bangi bazikiridde,
ddala ab’amaanyi bangi bagudde.
27 rEnnyumba ye, lye kkubo eridda emagombe,
nga likka mu bisenge eby’okufa.
Copyright information for LugEEEE